Ebya “Standby Generator’ Sibimanyi Temwawula mu bantu bange – Museveni obogoledde abawaga Muhoozi

Nga olusirika lwa ababaka wamu n’abakungu ba NRM lukyayindira e Kyakwanzi, Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nayogera ku nsonga za Muhoozi n’abantu be.

Mukwogerako mu lusirika Museveni mwasinziira okusomesa abakulembeze engeri jebayinza okwejja mu bwaavu, Pulezidenti Museveni akangudde ku ddoboozi eri abakungu ba NRM abaayoresa obugayaavu mu kukunga abavubuka ekibadde kibaviriddeko okulowooza nti ewa Muhoozi waliyo omulamwa ate nga tewali.

“Muhoozi bweyategeka abubaga bw’amazalibwage nga aweza emyaaka 48 mu Kampala b’ebitundu ebirala, abavubuka bangi bamweyungako nga balowooza anabayamba naye nga obuyambi bwebanonya buli mu government, kino nno kyaava ku bakungu mu NRM abatafaayo era Bwenasisinkana abantu ba Muhoozi nabagaana okuddamu okwawulayawula mu bantu bange abazzukulu bonna mbagala wamu” Museveni bwategezezza.
Museveni era ategezezza nti omusingi okwazimbirwa NRM mugumu era gukyaliwo bwatyo nalabula abo abagala okutondawo obubinja nga benonyeza ebyabwe.

Lino lirabise nga ekkonde evvanyuma eri ababadde basubira nti Muhoozi agenda kwesimvawo ku bwa Pulezidenti mu 2026.

Amawulire agava e Kyankwanzi galaga nti waliwo ababaka ababadde batamanyi kiddako naye Museveni olwogedde ebyo kati bonna bayimba ‘Tova ku Main’

Please follow and like us:
Pin Share

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Instagram