Katemba eyaludde okulabikako mu byafaayo bya Mukono yeyorekedde Mu lukiiko lwa District olutudde olwaleero naleeka bannamukono nga bebuuza ebiseera bya District yaabwe eby’omumaaso webiri.
Olukiiko lwasoose kutambula bulungi nga lukubirizubwa Sipiika Nakasi Betty, wabula obuvuyo butandise okwoyoreka bwetuuse ka takka Lye Kyetume lyebayisizza okutundibwa bbo kyebayise “Liizi”. Ababadde mu lukiiko naddala abamawulire bawunukiridde Sippiika bwatuse okusoma ekiddako ku takka lye Kyetume bwalaze lwaatu nga bwebabadde bwebaze dda okusalawo okulitunda. “Kino nkimanyi mwenna obwedda kyemulinda ekye ttaka lye Kyetume, naddala mwe abali mu Galale n’abamawulire, muswadde tugenda kuliwaayo tulabe kyemunatukola” Nakasi nga abalaata bweyetegezezza. Olwo ya yayise Kansala Waida nga yoomu ku babadde ku kakiiko akatekeebwawo okwekenenya enteekateeka yokutunda ettaka lino. Ono bwalabiseeko okusoma alipoota yekubye engalike nakatagga bwategeezezza nti ettaka ziri yiika amakumi ataano, ate bwabadde amaliriza nategeeza nti ettaka lyetaaga kuddamu kupima.
Ono ayolesezza omutindo gwekibogwe bategezezza nti okuguza ba Musigansimbi ettaka lino kigenda kwongera ku bugagga bwa uganda (GDP) obuwumbi bwa doola 25, kyokka nga saawa eno buli obukadde bwa doola 40. Kino eno ebadde nsobi nene era nga kyabulimba. Ekirala balaze nga bamusigansimbi bebetaga okuguza ettaka bwebalina okubeera nga Bakola Bizigo, okukola ensigo, okukola spare we motoka n’ebirala kyokka tekubadde kiwandiiko kyonna kiva mu kitongole kya butonde bwansi (NEMA) nga amateeka bwegagamba. Ekirala ettaka elyogerwaako liri wakati mu bantu nga sikyangu kuteekawo Makolero nga ago.
Bano bongedde nebalaga nga eggombolala ye Nakisunga bwelina okuweebwako ekitundu ku takka lino erikozese byeyagala okujebaza okukuuma ettaka lya District kyokka mu mateeka eggombolala terina wegabanira ku ttaka lya Distruct ely’obwebange kubanga kino kitegeeza buli gombolola ebeera erina okufunako. Wabula abatunuliizi bagamba luno lukujukujju lwakunyagiramu ttaka lya government.
Kansala akikirira abavubuka ku District Ssenyojo Lauben agezezza okuwakanya ekyotunda ettaka nga alumizza akakiiko olya enguzi okukola lipoota eyo wabula ono Sipiika Nakasi tamuganyiza kugenda mu maaso era naamufulumya.
Oluvanyuma lw’okusoma ekiwandiiko sipiika abadde asubirwa okuwa ba kansala omukisa okuteesa ku lipoota wabula ate yye mwenyini abasabye bonna bayise report eyo kubanga nungi nnyo. Kinajjukirwa ba kansala ebintu kyenda ku buli kikumi ku Lukiiko lwa Mukobo tebamanyi kusoma wadde okuwandiika ekibaviirako obutatunulira biwandiiko era okuteesa kubeera mu Luganda naye nga ebiwandiiko bya Luzungu.
Wakati mu kavuyo nga ne bakansala abasinga bafulumye olwa sipiika obukambwe bwabadde akozesa, bayisizz ekiteeso ekirunda ettaka luno eri abagga.
Kitegerekese nti bano baasose mu lukiiko nga lubaddemu ba NUP bokka era ssentebe n’abasaba bayise ekireeso kino nti bagenda kufuna ku ttaka.
Bibadde bikyaali bityo Ekitundu ekirala ekya Katemba nekitandika bwebaleese ekiteeso ekisaba olukiiko lukilize beyazike akakiiko agaba emirimu okuva mu District endala oluvanyuma lwa Ssentebe okulemererwa okulonda olukiiko olujjuvu. Sipiika olusomye ensonga eyo, Kansala okuva e Nama ate nga member ku lukiiko olufuzi ( Minisita) olwa District, Mwami Odongo akombye kwebaza eriibwa bwasabye sipiika Ssentebe wa District Mwami Bakaluba Mukasa oba akulira abakozi okuleeta ebiwandiiko byonna ebizze bibawerezebwa okuva e Kampala mu munistry ya government ey’ebitundu n’olukiiko olugaba emirimu olukulu ( Uganda service commission). CAO, abyesambye nategeeza nga ye bwaali omupya eta tafunanga kiwandiiko kyonna era nasaba obudde obumala. Nakasi ayise Ssentebe ayanje ebuwandiiko wabula Ssente avudde mu mbeera nayomba nga agamba bano bamulwanyisa.
Kinajjukirwa nti Ministry ya gavumenti eze bitundu wamu n’akakiiko akagaba emirimu akakulu Kalagira Ssentebe wa District ye Mukono Okulekako Omukyala Sharifa kiondo wabula ye Bakaluba kyatayagala. Odongo agamba tewunyizza nnyo ssentebe okuleeta ekiteeso n’ekyo nga akimanyi bulungi nte kyebasalawo era balina kukiwereza mu bantu bebamu abamuwabula ateekeko Sharifa Ssebunya.
Jebigweredde nga nga olukiiko teruwedde wakati mukwevuma n’okwesongamu ennwe.
Abamu ku bantu betwogeddeko nabo bagamba kyabuswaavu nnyo Ssentebe okukulembera District nga akulembera amaka gaabwe.