Museveni alagidde Minisita Mayanja okuteeka envumbo ku takka lya District ye Mukono abakulembeze ku District lyebagala okwezza – Bakaluba Bimusobedde

Wakati mu kukola buli kisoboka kyonna okulaba nga bezza etakka lya District Mukono lyelinawo lyokka erisangibwa e Kyetume, abakulembeze ba Mukono ebintu byandibazalira akabasa.

Kinajjukirwa nti Mukono yeemu ku District ezakosebwa mu nteekateeka y’okuzzaayo ebintu bya Ssabasajja Kabaka era nga wetwogerera Mukono yasigaza akatundu kokka okutudde ekitebe. Ekyewunyisa abakulembeze nga bakulembeddwaamu Ssentebe Bakaluba Mukasa, Sipiika Nakasi Betty, Wamu ne Ssentebe we Gombolola ye Nakisunga Ssekikubo Mubaraka bino byonna babibuusizza amaaso nebasalawo okwegabanya etakka lino mu lukujjukujju nga berimbisse mu kulikulakulanya.

Okusinziira ku biwandiiko ebirabiddwaako, abakulu bano baatondawo akakiiko ek’ekimpatira okukola alipoota ku nteekateeka jebakawa bbo jebayita okulakulanya etaka. Ensonda Ku Distruct ziraga nti akakiiko kano tekatuulangako wabula CAO yeyabakoledde lipoota jebagenda okusomera Olukiiko lwa District enkya nga Kasemba etakka yiika 50 nomusobyo zigabulwe.

Twongedde okukitegeera nti ba member ba kakiiko buli omu yawereddwa ssente okulaga nti bebwandiise alipoota eno.

Amawulire agaliwo galaga nti abamu ku baguzi abagenda okufuna ku takka lino bebawaddeyo Ssente ezigenda okutuuza olukiiko lwa District enkya ku lwokutaano kubanga mu mbalirira ya District terwalirimu.

Okusinziira ku kiwandiika ekifulumiziddwa Sipiika Nakasi Betty kiraga nti waliwo ensonga endala zebagenda okuteesaako okuli nokupangisa olukiiko okuva mu District endala okulanga emirimu mu Mukono oluvanyuma lwa District okulemererwa okufuuna olukiiko olwaabwe olugaba emirimu nga entabwe eva ku nkayana eziriwo wakati wa Ssentebe Bakaluba Mukasa neyaliko Ssente wa kakiiko kano Sharifah Kiondo nga ababamanyi ebyomunda bagamba ensonga za bano zirimu omukwano ogutagenda bulungi.

Wabula ebyo bibadde bikyali bityo ate Omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu Mukono, Hajji Haruna Ssemakula naddukira ewa President Museveni Namulopera ebigenda mu maaso mu Mukono. Ezimu ku nsonga zamulopedde kubaddeko ekobaane lyokubba ettaka lya gavumenti elifuuse Namulanda nga amabeere g’embwa.
Kitegerekese nti President yeewunyizza nnyo engeri abakulembezze jebayinza okusalawo okubba etakka lyebayinawo lyokka. Pulezidenti Museveni yakutte essimu naakubira Minisita weby’etakka Sam Mayanja wamu ne Minisita wa government ez’ebitundu Rapheal Magyezu nabaligira okuteeka envumbo ku Kyaapa kye takka elyo nga okunonyereza bwekugenda Mu maaso. Bwetwogeddeko ne Minisita akakasizza nti kituufu era enteekateeka egenda mu maaso okuteeka envumbo ku takka elyo era tewali kigenda kukolebwa ku ttaka elyo. Era kitegerekese nti n’akakiiko akalwanyisa obuli bwe nguzi mu makka ga pulezidenti saawa yonna kandibaako abantu bekakwaata e Mukono.

Hajji Haruna Ssemakula NRM Vice Chairman in the meeting with President Museveni at State House Entebbe Yesterday.

Kinajjukirwa nti enkayana ku takka lino zatandikka dda era nga ekirowoozo kyokulitunda kyaletebwaako mu kisanja ekiwedde nga Kiretebwa Ssentebe we Nakisunga Ssekikubo Mubarak wamu neyali Sipiika Emanuel Mbonye wabula Ssentebe eyaliko Ssenyonga Andrew naakisimbira ekkuuli ekyaviirako ababiri abo okumulwanyisa nokutuuka kati tebebuuza.

Bwetutuukiridde abakungu b’ekibiina kya NUP e Kamwokya ekisiinza abakiise ku Lukiiko lwa District ye Mukono, bategezezza nti bbo ng’ekibiina tebakiriziganya n’akutunda kintu kya government kyonna nti era abakikola bakuvunanibwa mu kibiina munda kubanga babeera bavudde ku mulamwa olw’obusente.

Bwetwogeddeko ne Hajji Ssemakula ategezezza nti bano byebaliko bamala biseera tewali ayinza kutunda takka lya gavumenti era akakasizza nti president yayingidde mu nsonga eno butereevu bwatyo nasaba abakulembeze okwekuba mu mutima baleme kuweebuka nga ba Minisita ababbba amabaati nga kati bali Luzira.

Please follow and like us:
Pin Share

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Instagram