Abakulembeze ba District ye Mukono Bamaliriza olukwe lw’okwegabanya ettaka lya District yiika 45!

Wakati nga District ye Mukono ekyatubidde mu bizibu enkuyanja nga mwemuli n’ekizibu kyobutaba na lukiiko lugaba mirimu ate wabaluseewo akasambatukko oluvanyuma lw’omusasi waffe okukitegeerako nti abakulembeze mu District bamalirizza enteekateeka yokugabana ettaka lya District elisangibwa e Kyetume, mu gombolola ye Nakisunga.

Etakka lino liruddewo nnyo nga lyaali lya lufula nga wewasalirwa enyamma eyaliisanga Kampala n’emirirwano, wabula embeera nga bwejja ekyuuka lufuula yavaawo era ettaka elyo nerisigala nga tekuli kintu.

Kitegerekese nti etakka lino lyelyaviirako enjawukana wakati wa chairman eyavaako muna NRM Andrew Ssenyonga ne Ssentebe we Nakisunga Ssekikubo Mubarak.
Okusinziira ku nsonda ezesigibwa Ssekikubo yaleeta abaguzi nga ali ne Sipiika eyawummula Emmanuel Mbonye. Omuguzi ono yali musajja muwarabu nga yali mwetegefu okusasula obuwumbi buna mu takka eryo era nga Ssekikubo ne Mbonye balinako omutemwa omunene ddala era nga nekutakka baali baakufisako. Wabula Ssenyonga Andrew yagaana okutusisinkana abaguzi nga agamba kyaali kyakulabika bubi nga batunze etakka lyokka District lyelinawo. Awo wewava emberebezi ya babiri bano era ekisanja kyaggwako nga Ssekikubo ne Andrew tewali abuuza munne. Ssekikubo era yawagira Hajji Haruna Ssemakula mu kamyuufu wabula olwafuna tikiti ya NRN ate nadda ku Rev Peter Bakaluba Mukasa.

Oluvanyuma lwa Bakaluba okuwangula obwa Ssentebe bwa District , Ssekikubo yatukiza bupya okutunda ettaka lino era kitegerekese nti batandika okubuna obufofofo ne Bakaluba okulaba engeri jebakutulamu diiru eno.

Ssekikubo yamatiza Bakaluba nga kino kyekyobugagga kyebasobola okufuna nga tewali awondera.

Omusasi waffe atutegezezza nti ku luno bajja nakakodyo kapya nga balina okufuna musigansimbi bamuwe liizi ya myaaka 49, olwo akulakulanye ettaka. Wabula ekyewunyisa musiga nsimbi ono wakusasula District million bibiri (200m) nga bwooba ogendedde ku bbeyi yakatale ezo ssente zigula yiika emu yokka mu kifo ekyo.

Kitegerekese nti Ssentebe wa District yasisinkana Sipiika Nakasi Betty naye naabako kyasubizibwa ku takka elyo ssinga kanso eyisa ekiteeso ekyo. Nakasi yakirizza era awagira etakka litundibwe.

Ensonda munda ku District ziraga nti Musiga nsimbi eno wakakokolo wabula Sentebe mwenyini yamuli emabega era etakka yalyagala nga wakugabanako ne banne bwebali mu diuru omuli Ssekikubo Mubarak, Emanuel Mbonye, Nakasi Betty wamu ne Ssentongo Robert.

Kikasiddwa nti mu kanso eddako sipiika ensonga eno agenda kujireeta era ba kansala bagenda kuweebwa buli omu emitwaalo ataano.

Okusinziira ku bantu betwogeddeko nabo balaze obwenyamivvu kubanga bagamba baalina esuubi ddene nnyo mu Bukulembeze bwa NUP nti busobola okukuuma ebintu bya District naye kyanaku nti bolesezza obuluvu bwebuti.

Bano bakubidde omulanga Pulinsipo wekibiina Robert Kyagulanyi Ssentamu okuvaayo agambe ku Ssentebe wamu ne Sipiika ne ba nkasala baleme kutunda takka.

Kinajjukirwa nti Mukono terina kifo kimala watudde kitebe, era ne ddwaliro weriri watono bano bagamba ebintu ngebyo byebandisubidde mu bakulembeze.

Bbo aba NRM bagamba bakukozesa ebitongole nga akakiiko ka statehouse akalwanyisa obuli bwe nguzi okulwanyisa obubbi obwekika kino.

Bwetugezezaako okubuuza abakulembeze ku nsonga eyo baganyi okubaako kyebajogerako.

Please follow and like us:
Pin Share

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Instagram